The Dongola Times

(Anachronistic) Dispatches from the Kingdom of Makuria.
21st of July, 2014

Katekiisimu y’e Heidelberg (v 0.1)

Kiki kyokka ekikuwa obukkakkamu mu bulamu ne mu kufâ?
Nti nze-nzennâ, omwooyo n’omubiri, mu bulamu ne mu kufâ, siri wânge-ku-bwânge, wabula ndi wa mulokozi wange omwesigwa Yesu Kristo; Eyasasulira-ddala olw’ebibî byange byonnâ, n’annunulà-nze okuva mu buyinza bwa sitâni; Ankuumà so that Kitange alî mu ggulù bwabeerâ tasiimye, n’oluvîri olumû-luti telusobola kuva ku mutwe gwange nelugwâ; era nti ebintu byonna-byonna biteekwa okugondera okulokolebwa kwange, era n’olw’ekyo ankákàsa ne Mwoyo we Omutukuvu nti ninâ obulamu obutagwaawo, n’anfuula omwetegefu n’omutima gwange gwonna, okuva ne kaakáno, okubêra omulamu ku lulwê.

Ebintu bimekâ by’olina okumanya olyoke osanyukire mu bulamu ne mu kufâ?
Bisatu; ekisookâ, obünji bwe bibi byange n’obuzibu bwendimu; ekyokubiri, bwenyinza okulokolebwa okuva mu bibi byange byonna n’obuzibu bwange bwonna; ekyokusatu, bwe n’ja okwebaza n’okweyanza Katonda olw’obulokozi obwenkanidd’âwo.

Obuzibu bwo obutegeerera wa?
Okuva mu tteeka lya Katonda.

Etteeka lya Katonda litugamba litya?
Kristo atusomesa mu bumpi-mpi nti (Matt. 22:37-40):
“‘Yagala-nga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’ebirowoozo byo byonna, n’amaanyi go gonna.’ Lye lino etteeka erikulembera era ekkulu; ely’aokubiri nalyo lirifânana, ‘Yagala-nga munnô nga bweweyagala gwe-kennyini.’ Ku bilagiro bino amateeka gonna ne ba nnabbi bonna kwebyesigamyê.”

Bino osobola okubituukiriza obulungi byonna?
Nedda n’akatono; kubanga mu mbeera yange eya bulijjo mbeera siyagala Katonda ne munnange.

Kwekugamba nti Katonda yatonda omuntu nga mwonoonyi omuseegu bwati?
Nedda n’akatono; wabula Katonda yatonda omuntu mu kifaananyi kye Ye-kinnyini, mu butuukirivu n’obutukuvu bwonna, alyooke amanyire-ddala Omutonzi we, amwagalire-ddala, era atambule-nga naye lubeerera okumutendereza n’okumusuuta.

Atê kati obwoononefu bw’omuntu buva wa?
Buva mu kugwa n’obutawulira bw’abazadde baffe abaasookera-ddala, Adamu ne Kaawa, mu Nnimiro eri; embeera yaffe eya bulijjo kyeyava eyonoonekera-ddala, nga okuva mu lubuto ne mu kuzâlibwa tuli mu kibi.

Kwekugamba tuli boononefu nnyo nti tetusobola kukola kalungi konna-konna, era nti twettanira bibi byokka?
Mazima-ddala bwe tuli; okujjako nga Mwoyo-Mutukuvu atuzizza bujjâ.

Olwo Katonda abeera tatulyaazamanyiz’za, okutulagira byetutasobola kutuukiriza mu mbeera yaffe eno?
Nedda n’akatono; kubanga Katonda yatonda omuntu nga asobola bulungi okubituukiriza byonnâ; naye omuntu ye-kennyini yejjako n’abazzukulu bê ebirabo bino, sitâni bwe yamusigula, nnyini naye n’ajeema.

Katonda anaalekayo-bulesi, n’atabonereza buno obujeemu n’emputtû?
Nedda n’akatono; era obujeemu obwasooka n’ebibî byaffe ebirala bimunyiiza nnyo; era aja kubibonereza mu biseera bino era ne mu kiseera kiri ekyolubeerera, era yayogera dda: “Omuntu yenna atagoberere-nga byonna-byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’amateeka, okubituukiriza-nga, akolimiddwa.”

Naye ate Katonda ssi wa kisa?
Katonda wa kisa, naye Katonda era wa bwenkanya; n’olwekyo obwenkanya bwê bugamba nti okuzza omusango ku bukulu bwa Katonda obutenkanika kuteekwa okubonerezebwa n’ekibonerezo ekijyâ mu musango ogwo, kwekugamba, ekibonerezo ekyolubeerera mu mubiri ne mu mwoyo.

Kale nno, oba nga Katonda bweyasala omusango mu butuukirivu twasalibwa gwa kibonerezo kya lubeererâ, tewali ngeri jetusobola kuwona kibonerezo ekyo, ne tulyoka tuddibwamu?
Obwenkanya bwa Katonda bulina okutuukirizibwa; n’olw’ekyo omusango gulina okusasulwa, oba nga ffé tusasudde, oba nga waliwo atusasulidde.

Ate ffe-kenyini, tusobola okugusasula?
Nedda n’akamu; ate nga buli lunaku omusago tugwongerako-bwongezi.

Waliwo wonnâ ekitonde-obutonde kyonnâ ekisobola okutusasulirako?
Tewali; kubanga okusooka Katonda tajja kubonereza kitonde kilala ku lw’omusango omuntu gwe yazza; ate tewali na kitonde-butonde kisobola kwesimba mu busungu Katonda bw’asunguwalirâ ekibi, mbu kilyoke kiwonye ebilala obusungu obwo.

Omutabaganya wa ngeri ki gwe tulina okunoonya?
Alina okubeera nga muntu-ddala, ate nga mutuukirivu-ddala; ate nga asinga ebitonde byonnâ amânyi; kwekugamba, ng’era Katonda-ddala.

Lwaki alina okubêra omuntu-ddala, ate nga mutuukirivu-ddala?
Kubanga obwenkanya bwa Katonda bugamba nti obutonde bw’omuntu obwazza omusango bwebulina okusasula omusango ogwo; ate abanjibwâ tasobola kusasulira balala.